Amos 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda yeerayiridde; agamba Omukama Katonda w'Amagye nti: “Nkyawa amalala ga Yakobo, neenyinyala embiri ze; ekibuga nzija kukiwaayo na byonna ebikirimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti, “Neetamiddwa amalala ga Yakobo, nkyawa ebigo bye, era nzija kuwaayo ekibuga ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda ow'eggye, alayidde nti, “ Nkyawa amalala ga Yakobo, ne ntamwa amayumba gaabwe, kyendiva mpaayo ekibuga kyabwe ne byonna ebikirimu eri omulabe waabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda Nnannyinimagye alayidde nti: “Nkyawa okwekulumbaza kw'Abayisirayeli, ne ntamwa amayumba gaabwe. Kyendiva mpaayo eri omulabe ekibuga kyabwe ekikulu, ne byonna ebikirimu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda yeerayidde yekka, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye, nti Nkyawa obulungi bwa Yakobo, ne ntamwa amayumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonna ebikirimu.