Amos 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Amaziya, kabona w'e Beteli n'atuma ewa Yerobowamu kabaka wa Yisirayeli, n'amugamba nti: “Amosi akujeemedde wano mu nnyumba ya Yisirayeli wakati; ensi tekyasobola kugumiikiriza bigambo bye byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna byayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya kabona w'e Beteli, n'atumira Yerobowaamu, kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Amosi akwekobera mu Bayisirayeli. Byonna by'ayogera, eggwanga teriyinza kubigumiikiriza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti</h2>i akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna.