Amos 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bino Amosi by'agamba: “ ‘Yerobowamu ajja kufa kitala, ne Yisirayeli ajja kuwaŋŋangusibwa ewala okuva mu nsi yaboobwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati Amosi bw’ayogera nti, “ ‘Yerobowaamu alifa kitala, ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse bave mu nsi yaboobwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Amosi agamba nti, Yerobowaamu alifiira mu lutalo, era aba Isiraeri bajja kutwalibwa nga basibe mubuwaŋŋanguse okuva mu nsi yaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Amosi agamba nti: ‘Yerobowaamu wa kufiira mu lutalo. Era Abayisirayeli, bajja kuggyibwa mu nsi yaabwe, batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga</h2>i bw'ayogera bw'ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.