Amos 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya n'agamba Amosi nti: “Genda, ggwe omulabi, ddukira mu nsi ya Yuda, eyo gy'oba olya emmere era gy'oba okolera obulanzi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya n'agamba Amosi nti, “Ggwe omulabi, genda, ddayo mu Yuda, okolere eyo ogw'obunnabbi, era gy'oba ofuna emmere gy'olya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya n'agamba Amosi nti: “Ggwe omulanzi, genda, ddayo mu Buyudaaya, okolere eyo ogw'obulanzi, era eyo gy'oba ofuna emmere gy'olya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Amaziya n'agamba</h2>i nti Ggwe omulabi, genda weddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo: