Amos 7:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye toddamu kulangira mu Beteli, kubanga kye kitukuvu kya kabaka era kye kiggwa ky'eggwanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tolagulira wano e Beseri: kubanga kino kabaka mw'asinziza, era ye Yeekaalu y'eggwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye toddangamu kukolera gwa bulanzi wano mu Beteli, kubanga kino kye kifo, kabaka mw'asinziza, era lye Ssinzizo ly'eggwanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka.