Amos 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Amosi n'ayanukula n'agamba nti: “Nze siri mulanzi, yadde omu ku baana b'abalanzi, wabula ndi mulunzi, ndabirira miti gya mikunyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amosi n'alyoka addamu Amaziya nti, “Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi, wabula nnali musumba era nga ndabirira emiti emisukomooli:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amosi n'addamu Amaziya nti: “Saali mulanzi, wadde omugoberezi w'abalanzi, wabula nali mulunzi era nga ndabirira miti emisikamoreya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo</h2>i n'alyoka addamu n'agamba Amaziya nti Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi; naye nnali musumba era musalizi w'emisukomooli: