Amos 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama ye yanzigya ku gw'okulunda, n'aŋŋamba nti: ‘Genda olange eri abantu bange Yisirayeli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo Mukama gye yanzigya ku mulimu ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti, ‘Genda olagule abantu bange aba Isiraeri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama yanzigya ku mulimu gwange ogw'obulunzi, n'aŋŋamba nti: ‘Genda olange eri abantu bange Abayisirayeli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'anziya ku mulimu ogw'okugoberera ekisibo, Mukama n'aŋŋamba nti Genda olagule abantu bange Isiraeri.