Amos 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno wulira ekigambo ky'Omukama: “Ggwe ogamba nti: ‘Tobaako ky'olanga ku nnyumba ya Yisirayeli, era tobaako ky'osiinya ku nnyumba ya Yizaake.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti, “ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri, era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano wulira Mukama ky'agamba nti, Tolagula bigambo binenya Isiraeri, toyogera bikosa nnyumba ya Isaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano wulira Mukama ky'agamba. Oŋŋamba nti: ‘Tolanga bivumirira Bayisirayeli, toyogera bikosa bazzukulu ba Yisaaka.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno wulira ekigambo kya Mukama: Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonnyesanga ku nnyumba ya Isaaka;