Amos 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo nno Omukama kino ky'agamba: “Mukazi wo ajja kufuuka malaaya mu kibuga, batabani bo ne bawala bo bajja kufa ekitala; ensi yo ejja kukubibwa olukoba olupima egabanyizibwemu, ate naawe olifiira mu nsi eteri nnongoofu, ne Yisirayeli ajja kuwaŋŋangusibwa ewala okuva mu nsi yaaboobwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama kyava akuddamu nti, “ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala. Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri. Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava agamba bw'ati nti, ‘Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo balittibwa mu lutalo, ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala, naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Isiraeri bateekwa okugyibwa mu nsi yaabwe batwalibwe mu buwaŋŋanguse.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyava agamba nti: ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga. Batabani bo ne bawala bo balittirwa mu lutalo. Ettaka lyo lirigabanibwamu ne liweebwa abalala. Naawe kennyini olifiira mu nsi ey'abatali balongoofu, era Abayisirayeli tebalirema kuggyibwa mu nsi yaabwe, ne bawaŋŋangusibwa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; naawe kennyini olifiira mu nsi eteri nnongoofu, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.