Amos 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enzige nga zimaze okusenkenya omuddo ku nsi, ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, nsaasira! Yakobo anaasigalawo, oyo omutono bw'atyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “ Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaba ng'enzige zirya buli kantu akaali mu nnimiro abalamu n'enkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? Kubanga mutono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe zaamala okulya buli kimera kyonna mu nsi, ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, sonyiwa! Abayisirayeli banaasobola batya okulama? Kubanga tebaliiko bwe bali!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe zaamala okulya omuddo ogw'omu nsi ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? kubanga mutono.