Amos 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino Omukama Katonda kye yandaga: Omukama yali ayita omuliro agweyambise okulamula; gwakaliza eddubi eggwanvu ne gutandika n'okulya olukalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nfuna okwolesebwa okulala okuva eri Mukama Katonda: nnalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Gwali gulidde ennyanja eyali wansi w'ensi era nga gutandise okwokya olukalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama, Katonda bye yandaga: nalaba ng'ateekateeka omuliro okubonereza abantu. Omuliro ogwo ne gukaliza obuziba bw'ennyanja, ne gutandika n'okwokya olukalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: kale, laba, Mukama Katonda n'ayita abantu okuwakana n'omuliro; ne gwokya obuziba obunene, era gwandimazeewo n'olukalu.