Amos 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nkwegayiridde, koma awo; Yakobo anaasigalawo, oyo omutene bw'atyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Ayi Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? Kubanga mutono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda, Abayisirayeli banaayinza batya okulama? Kubanga tebaliiko bwe bali!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? kubanga mutono.