Amos 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ambuuza nti: “Amosi, kiki ky'olaba?” Ne mmwanukula nti: “Bbirigi.” Awo Omukama n'aŋŋamba nti: “Laba, nzija kussa bbirigi mu bantu bange wakati; sijja kwongera nate kubaleka bulesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'ambuuza nti, “Amosi, olaba ki?” Ne muddamu nti, “Omugwa ogugera.” Awo Mukama n'agamba nti, “Nkozesa omugwa ogugera, okulaga abantu bange Isiraeri nti; bali ng'ekisenge ekitateredde. sikyaddamu kukyusa kirowoozo kyange nate, ŋŋenda kubabonereza ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Omuguwa ogugera.” Awo Mukama n'agamba nti: “Nkozesa omuguwa ogugera, okulaga Abayisirayeli nti: bali ng'ekisenge ekitateredde. Sikyaddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti</h2>i, olaba ki? Ne ŋŋamba nti Omugwa ogugera. Awo Mukama n'ayogera nti Laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w'abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri: