Amos 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embaga zammwe enkulu ndizifuula za kukaaba, n'ennyimba zammwe zonna ndizifuula za kukungubaga; buli omu mu mmwe ndimwambaza ekikutiya, era ndimumwa enviiri. Ndirufuula ng'olunaku olw'okukungubagira omutabani eyazaalibwa omu, luliggwa ng'olunaku olw'ennyiike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba. Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu n’emitwe gyammwe mugimwe. Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka, era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga. Ndibamwesaako enviiri zammwe, ne mwambala ebibukutu, ne muba ng'abazadde abakungubagira omwana waabwe gwe babadde balina omu yekka. Olunaku olwo lulibeera lwabubalagaze obungi ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embaga zammwe, ndizifuula za kukungubaga, n'ennyimba zammwe ez'essanyu, ndizifuula kutema miranga. Ndibamwesaako enviiri zammwe, ne mwambala ebikutiya, ne muba ng'abazadde abakungubagira omwana waabwe gwe babadde balina omu yekka. Olunaku olwo lwonna lulibeera lwa bulumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga; era ndireeta ebibukutu ku biwato byonna, n'ebiwalaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaalibwa omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala.