Amos 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe nnaasindika enjala mu ggwanga lyonna; kyokka si njala ey'emmere oba ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ekigambo ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera kijja bw'ayogera Mukama Katonda, lwa lisindika enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ekigambo kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera kijja kutuuka, nsindike enjala mu nsi. Abantu balirumwa enjala naye nga si ya mmere. Balirumwa ennyonta, naye nga si ya mazzi, wabula nga ya kuwulira Kigambo kya Mukama. Nze Mukama, Katonda, nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama.