Amos 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu balizuŋŋana okuva ku nnyanja emu okutuuka ku ndala, okuva emambuka okutuusa ebuvanjuba, nga banoonya ekigambo ky'Omukama, kyokka tebalikizuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala, bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikifuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja Enfu okutuuka ku nnyanja Eya wakati, n'okuva obukiikakkono okutuuka ebuvanjuba. Balidda eruuyi n'eruuyi nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikizuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balitambula okuva ku Nnyanja Enfu okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati, n'okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Era balidda eno n'eri, nga banoonya ekigambo kya Mukama. Naye tebalikizuula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n'okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebuvanjuba; baliddukana mbiro eruuyi n'eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba.