Amos 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo bonna abalayira omusango gwa Samariya, ne bagamba nti: ‘Mazima lubaale wo nga mulamu, ggwe Daani!’ Oba nti: ‘Ndayidde ekkubo ly'e Beeriseba!’ Baligwa, tebaliddamu kusituka mulundi mulala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’ oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’ baligwa obutayimuka nate.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abalayira ekibi kya Samaliya nga bagamba nti, ‘katonda wo, ayi Ddaani, mulamu!’ Oba nti, ‘katonda w'e Beeruseba mulamu,’ baligwa so tebaliyimuka nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abalayira balubaale b'e Samariya, ne bagamba nti: ‘Lubaale w'e Daani omulamu!’ Oba nti: ‘Lubaale w'e Beruseba omulamu!’ Baligwa, ne bataddamu kuyimuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalayira ekibi kya Samaliya ne boogera nti Nga Katonda wo, ai Ddaani, bw'ali omulamu; era nti Ng'ekkubo lya Beeruseba bwe liri eddamu; abo baligwa so tebaliyimuka nate.