Amos 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ekijjudde ebibala eby'ekyeya.” Omukama Katonda n'aŋŋamba nti: “Akadde katuuse olw'abantu bange Yisirayeli, sijja kwongera nate kubaleka bulesi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ambuuza nti, “Amosi, olaba ki?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.” Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti, “Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri, sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, ngenda kubabonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ky'ebibala eby'omu kyeya.” Mukama n'aŋŋamba nti: “Abantu bange Abayisirayeli banaatera okuzikirizibwa. Sijja kuddamu kukyusa kirowoozo kyange, nja kubabonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti</h2>i, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.