Amos 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda agamba nti: “Ennyimba z'omu Kiggwa ku olwo zirifuuka biwoobe; emirambo giriba mingi nga gigaŋŋalamye wonna. Sirika!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennyimba ez'omu Yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, ennyimba ez'omu Ssinzizo, zirifuuka kutema miranga. Emirambo giriba mingi. Baligisuula mu buli kifo nga basirise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennyimba ez'omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.