Amos 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo,” Omukama Katonda y'agamba, “ndigira enjuba n'egwa mu ttuntu, n'ensi ndigiteeka mu nzikiza emisana ttuku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda agamba nti, “Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama Katonda, “ndiragira enjuba n'egwa mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, ndiragira enjuba n'egwa mu budde obw'ettuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi emisana. Nze Mukama, Katonda, nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda, ndigwisa enjuba mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi obudde nga butangaala.