Amos 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalaba Omukama ng'ayimiridde kumpi n'omwaliiro, n'aŋŋamba nti: “Kuba ku mitwe gy'empagi emyango ginyeenye, ogyasize ku mitwe gyabwe bonna, buli anaaba asigaddewo mu bo nzija kumutta n'ekitala; mu bo tewaabe anadduka; mu bo temuube anaawonawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti, “Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi, emifuubeeto gikankane. Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna, n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala. Tewaliba n’omu awona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto, n'alagira nti, “Kuba emitwe gy'empagi za Yeekaalu, emiryango gikankane. Era gimenye gigwe ku mitwe gy'abantu. Abo abasigaddewo ndibattira mu lutalo. Tewaliba ku bo alidduka, wadde awonawo n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'alutaari, n'alagira nti: “Kuba emitwe gy'empagi z'essinzizo, emiryango gikankane. Era gimenye, gigwe ku mitwe gy'abantu. Abo abasigaddewo, ndibattira mu lutalo. Tewaliba n'omu ku bo adduka, wadde awonawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto: n'ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonna; era nditta n'ekitala ow'enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n'omu.