Amos 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aboonoonyi bonna mu bantu bange balittibwa n'ekitala, abo bonna abagamba nti: ‘Akacwano tekalitusemberera yadde okututuukirira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aboonoonyi bonna mu bantu bange, balifa kitala, abo bonna aboogera nti, ‘Akabi tekalitutuukako.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu bantu bange, abo bonna abakola ebibi, era abagamba nti, ‘Akabi tekalitutuukako, wadde okutusemberera,’ balifa n'ekitala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bantu bange, abo bonna aboonoonyi, era abagamba nti: ‘Akabi tekalitutuukako, wadde okutusemberera’ balifiira mu lutalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalina ebibi bonna ab'omu bantu bange balifa n'ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebulitukulembera.