Amos 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo ndiyimusa ensiisira ya Dawudi eyagwa, ndiziba awaabomolwa, era ndiddaabiriza ebifulukwa byayo; ndigizimba n'eddawo nga bwe yali edda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro ebyo ndizzaawo ennyumba ya Dawudi eyagwa era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa, ne nzizaawo ebyali amatongo, ne biba nga bwe byabeeranga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama agamba nti, “Olunaku lulituuka lwe ndizaawo obwakabaka bwa Dawudi, obuli ng'ennyumba eyagwa. ndibuddaabiriza, ne mbuzzaawo nga bwe bwali edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olunaku lulituuka, ne nzizaawo obwakabaka bwa Dawudi, obuli ng'ennyumba eyagwa. Ndiddaabiriza ebisenge by'ennyumba eyo, ne ngizzaawo nga bwe yali edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez'edda;