Amos 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
basobole okutwala abasigaddewo mu Edomu n'amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange.” Omukama y'agamba akola kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,” bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo Isiraeri alitwala ekitundu kya Edomu ekisigaddewo n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange,” bw'ayogera Mukama akola kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Abayisirayeli baliwangula ensi ya Edomu esigaddewo era n'amawanga gonna agaabeerako agange. Mukama alikola ekyo, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw'ayogera Mukama akola kino.