Amos 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ennaku zituuse,” Omukama y'agamba, “akabala asangibwe akesa, n'asiga asangibwe omusogozi w'emizabbibu. Ensozi zijja kukulukuta omubisi gw'emizabbibu, n'obusozi bwonna butonnyolokoke evviini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “akungula lw’alisinga asiga, n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu. Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi, n’akulukuta okuva mu busozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ennaku zijja,” bw'ayogera Mukama, “akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo. Omwenge omuwoomerevu gulikulukuta okuva ku nsozi ne ku busozi bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ennaku zirituuka, obudde obw'amakungula g'eŋŋaano n'obw'okusogola emizabbibu ne butuuka, ng'obw'okusiga tebunnaggwaawo. Omwenge omuwoomu gulikulukuta okuva ku nsozi ne ku busozi bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bwonna bulisaanuuka.