Amos 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikomyawo abasibe b'abantu bange Yisirayeli, balizimba buto ebibuga byabwe ebyayonoonebwa, era balibibeeramu; balisimba emizabbibu ne baginywako omwenge, balirima ennimiro ne balya ebibala byazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu. Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu, era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikomyawo abantu bange Isiraeri mu nsi yaabwe. Kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo ettayo ne babibeeramu. Balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndikomyawo abantu bange Abayisirayeli mu nsi yaabwe. Ebibuga byabwe ebyalekebwa awo ettayo, birizimbibwa ne babibeeramu. Balisimba emizabbibu, ne banywa omwenge gwayo. Balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.