Amos 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubasimba ku ttaka lyabwe; tebaliddayo kusimbulibwa mu nsi yaabwe gye nabawa.” Omukama Katonda wo y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe, era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,” bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibasimba abantu bange mu nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bwatyo” bw'ayogera Mukama Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisenza abantu bange mu nsi gye nabawa, era tebaliddayo kugisengukamu.” Mukama Katonda wammwe bw'atyo bw'ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo.