Amos 9:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe balisima ne bakka emagombe, omukono gwange gulibaggyayo; ne bwe balyambuka mu ggulu, nayo ndibawanulayo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo, era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, era ndibawanulayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe balisima okutuuka emagombe, era ndibakwata ne mbaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu, era ndibawanulayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.