Amos 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bwe balyekukuma ku ntikko ya Karumeli, ndibanoonyaayo ne mbakwatirayo; ne bwe balinneekweka ku ntobo y'ennyanja, ndiragira ssessota n'ababojjerayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri, ndibanoonyaayo ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bwe balyekweka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, era ndibanoonya ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw'ennyanja wansi, era ndiragira ogusota gwayo ne gubabojja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe balyekweka ku ntikko y'Olusozi Karumeeli, era ndibanoonya ne mbaggyayo. Ne bwe balinneekweka wansi mu buziba bw'ennyanja, era ndiragira ogusota gwamu ne gubabojja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw'ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma.