Amos 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda w'Amagye, akwata ku nsi n'esaanuuka, bonna abasulamu ne bakuba ebiwoobe, ensi yonna n'etumbiira nga Kiyira, ate n'ekka nga Kiyira w'e Misiri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama, Mukama ow’Eggye, akwata ku nsi n’esaanuuka, abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga, ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akwata ku nsi n'esaanuuka, ne bonna abagibeeramu ne banakuwala, yonna n'etumbiira ate n'ekka ng'Omugga Kiyira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda Nnannyinimagye, ye oyo akwata ku nsi n'ekankana, bonna abagiriko ne banakuwala, yonna n'etumbiira era n'ekka ng'Omugga Kiyira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n'esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw'e Misiri;