Amos 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyo azimba olubiri lwe eyo mu ggulu, emisingi gyalwo n'agisimba ku nsi, ayitayo amazzi g'ennyanja n'agayiwa ku lukalu, Omukama lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye wuuyo azimba ennyumba ye mu ggulu, era waggulu w'ensi n'ateekawo ebbanga. Ye ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yazimba ennyumba ye mu ggulu, era waggulu w'ensi n'ateekawo ebbanga. Ye ayita amazzi g'omu nnyanja, n'agayiwa ku lukalu. Erinnya lye ye Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olunalu; Mukama lye linnya lye.