Amos 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abayisirayeli, ku nze temuli ng'Abakuusi?” Omukama y'agamba, “Si nze naggya Yisirayeli mu nsi y'e Misiri, n'Abafilisitiini ne mbaggya e Kafutori, n'Abasiriya ne mbaggya e Kiri?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ayongera n’agamba nti, “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi? Ssabaggya mu nsi y’e Misiri nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli, n’Abasuuli e Kiri?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwati bw'ayogera Mukama nti, “Mmwe abaana ba Isiraeri mbalowoozako nga bwe ndowooza ku baana b'Abaesiyopya. Nga bwe nnaggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri, bwentyo era bwe nnaggya Abafirisuuti e Kafutooli, n'Abasuuli e Kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, ndowooza ku bantu b'e Etiyopiya, nga bwe ndowooza ku mmwe. Naggya Abafilistiya mu Kafutoori, n'Abasiriya mu Kiri, nga bwe naggya mmwe mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri?