Amos 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati amaaso g'Omukama Katonda gali ku bwakabaka obwonoonyi; nzija kubumalawo ku nsi, naye sijja kusaanyizaawo ddala nnyumba ya Yakobo.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda, gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi. Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya okuva ku nsi. Kyokka sirizikiririza ddala ennyumba ya Yakobo okugimalawo,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Mukama Katonda, kaakano nneekalirizza obwakabaka buno obwa Isiraeri obukola ebibi, era ndibusaanyawo ku nsi, naye sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo,” bwatyo bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Katonda, kaakano neekaliriza obwakabaka buno obwa Yisirayeli obukola ebibi, era ndibusaanyaawo ku nsi, naye sirizikiririza ddala bazzukulu ba Yakobo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g'ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama.