Colossians 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulyoke muyise nga bwe kisaanidde Omukama, nga mumusanyusa mu byonna; mubale ebibala mu buli mulimu mulungi, mukule mu kumanya Katonda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mutambulenga nga bwe kisaanira Mukama, nga mumusanyusa, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mweyongeranga mu kutegeera Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mulisobola okuba nga Mukama bw'ayagala, nga mumusanyusa mu byonna. Muliba ba mugaso mu buli kirungi kye mukola, era mulyeyongera okumanya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw'okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda;