Colossians 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mugumizibwe n'amaanyi gonna ag'obuyinza bwe obw'ekitiibwa, musobole okugumiikiriza byonna n'essanyu nga temwekaanya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale munywezebwenga n'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuyinza bwe obwekitiibwa bulibawa amaanyi gonna, musobole okugumira byonna n'obugumiikiriza, nga muli basanyufu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;