Colossians 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti mu ye byonna mwe byatonderwa, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, ebirabika n'ebitalabika, ne nnamulondo, abafuzi, abakungu n'ab'obuyinza; byonna byatondebwa mu ye era ku lulwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba buyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye, era ku lulwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, newaakubadde entebe ez'obwakabaka, n'obufuzi bw'amatwale, wadde abakungu n'ab'obuyinza, byonna byatonderwa mu ye era ku lulwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe;