Colossians 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ya batuukirivu era abooluganda abakkiriza Yezu Kristu abali e Kolossi. Eneema ebeere nammwe ko n'emirembe okuva ewa Katonda Kitaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tuwandiikira mmwe abantu ba Katonda, era abooluganda abeesigwa mu Kristo, abali mu Kolosaayi. Katonda Kitaffe abakwatirwe mmwe ekisa era abawe emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.