Colossians 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ayite mu ye byonna okubitabaganya naye, ebiri mu nsi n'ebiri mu ggulu, ng'azzaawo emirembe n'omusaayi ogw'oku musaalaba gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nga ayita mu ye okutabaganya ebintu byonna eri ye yennyini, oba ku nsi oba mu ggulu, bwe yaleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yasiima ayite mu ye okutabagana n'ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, ng'aleetawo emirembe olw'okufa kwa Kristo oyo, eyafiira ku musaalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu.