Colossians 1:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati mu kufa kwe abatabaganyizza nga yeeyamba omubiri gwe ogufa, alyoke abanjuleyo nga muli batukuvu, temuliiko bbala, yadde ekibavunaanibwa mu maaso ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye kaakano abatabaganyiza mu mubiri gw'ennyama ye olw'okufa kwe, alyoke abanjule abatukuvu era abatalina kya kunenyezebwa era abataliiko bbala mu maaso ge,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano Katonda yatabagana nammwe, mu mubiri gwa Kristo eyafa, alyoke abanjule nga muli batukuvu, abataliiko kamogo wadde omusango mu maaso ga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge: