Colossians 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kasita musigala mu kukkiriza, nga muli banywevu, temusagaasagana, nga tewali kibaggya ku ssuubi lye mwafuna mu Vangili gye mwawulira, ebuuliddwa buli kitonde ekiri wansi w'eggulu, era nze Pawulo gye nafuuka omuweereza waayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kasita mweyongera okubeera mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa ebitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka muteekwa okuba mu kukkiriza, nga muli banywevu, nga temusagaasagana, era nga temuvudde mu kusuubira kwe mwafuna mu Mawulire Amalungi ge mwawulira. Amawulire Amalungi ago, gatuusiddwa ku bantu bonna abali ku nsi, era nze Pawulo, nafuulibwa omuweereza waago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.