Colossians 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kati nsanyukira mu nnaku ze ndaba olw'okubeera mmwe; bwe ntyo mu mubiri gwange ne mmaliriza ebikyabula ku kubonaabona kwa Kristu kwe yabonaabonamu olw'okubeera omubiri gwe, ye Ekleziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano nsanyukira mu bibonoobono byange ku lwammwe, era mu mubiri gwange ntuukiriza ebyo ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo olw'omubiri gwe, ye kkanisa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano nsanyuka olw'okubonaabona kwe mbonaabonamu ku lwammwe. Era okubonaabona kwange mu mubiri, kutuukiriza ebyo ebyasigalira ku kubonaabona kwa Kristo olw'omubiri gwe, kye kibiina ky'abamukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;