Colossians 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyabatuukako, nga bwe yatuuka mu nsi yonna, n'ebala ebibala n'okutinta nnyini. Bwe kyali n'ewammwe okuva ku luli lwe mwayiga ne mutegeera eneema ya Katonda mu mazima,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya Katonda mu mazima;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
agagenda gabuna mu nsi yonna, era nga gakola ekyo kye gakoze mu mmwe, okuviira ddala ku lunaku lwe mwasooka okuwulira ku kisa kya Katonda, ne mukitegeerera ddala mu mazima,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya