Colossians 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno okuva lwe twawulira, tetutadde kwegayirira nga tubasabira Katonda abajjuze okumanya ky'ayagala mu buli magezi n'okutegeera eby'omwoyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe kyetuva tetulekaangayo kubasabira okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, nga tubeegayiririra mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale naffe okuva lwe twawulira ekyo, tetulekangayo kubasabira na kwegayirira Katonda, abajjuze okumanya by'ayagala, nga mubimanya mu magezi gonna, n'okutegeera okw'omwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n'okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,