Colossians 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ye mwe mwatayiririrwa, si n'okutayirirwa okwakolebwa engalo, wabula nga mweggyako omubiri ogw'ennyama mu kutayirirwa okwa Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutali bwa mikono, bwe mwayambula omubiri mu kukomolebwa kwa Kristo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mwakomolerwa mu ye. Temwakomolebwa bantu, wabula Kristo ye yabakomola, ng'abambulamu embeera yammwe etetabagana na Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'ennyama, mu kukomolebwa kwa Kristo;