Colossians 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne muziikibwa wamu naye mu batismu, mwe mwazuukizibwa awamu naye mu kukkiriza kwe mwakkirizaamu amaanyi ga Katonda, oyo eyamuzuukiza mu bafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe mwaziikibwa awamu naye mu kubatizibwa, era mmwe mwazuukirira awamu naye olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mwabatizibwa mwaziikibwa wamu ne Kristo, era mu kubatizibwa mwazuukira wamu naye olw'okukkiriza obuyinza bwa Katonda eyamuzuukiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.