Colossians 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yasazaamu ekiwandiiko ky'ebbanja ekyatukotoggeranga n'etteeka lyakyo; yakiggyawo ng'akikomerera ku musaalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'aggyawo endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatuwalirizanga okutuukiriza ebiragiro byayo, bwe yagikomerera ku musalaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yasazaamu era n'aggyawo endagaano eyatuwalirizanga okutuukiriza ebyo amateeka g'Ekiyudaaya bye galagira, n'agikomerera ku musaalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n’agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba: