Colossians 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafuzi n'ab'obuyinza yabambula ebyokulwanyisa n'abaswaza mu lujjudde, ng'abawangulira mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kwe yayambulira ddala abafuzi n'ab'obuyinza, n'abawemuukiriza mu lwatu, n'abawangulira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku musaalaba ogwo kwe yawangulira abafuzi n'ab'obuyinza, n'abaggyako ebyokulwanyisa, n'abaswaza mu lwatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yayambulira ddala obwami n’amasaza, n'abiwemuukiriza mu lwatu, bwe yabiwangulira ku gwo.