Colossians 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno waleme kubaawo n'omu abanenya ku bikwata ku mmere oba yadde ku byokunywa, oba ku bidda ku mbaga enkulu, oba ku kuboneka kw'omwezi ne sabbaato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo tewabangawo omuntu yenna abasalira musango mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tewabangawo abanenya olw'ebyo ebifa ku byokulya ne ku byokunywa, oba olw'ebyo ebikwata ku nnaku enkulu, ne ku kuboneka kw'omwezi, wadde ku nnaku za Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: