Colossians 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate oba olw'okufa awamu ne Kristu ebintu ensi mwe yakolebwa mwabibeerera bafu, lwaki nno mweyisa ng'abakyali ab'ensi? Lwaki mukyagondera by'eragira:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka emyoyo gyonna egy'ensi, lwaki ate mweyisa nga abakyafugibwa eby'ensi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwafiira wamu ne Kristo ne muwona obuyinza bw'emisambwa, obufuga ensi. Kale lwaki ate muyisa ng'abakyafugibwa ensi, ne mukkiriza okuweebwa ebiragiro nga bino:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka eby'olubereberye eby'ensi, kiki ekibeeteesa wansi w'amateeka, ng'abakyali abalamu mu nsi nti