Colossians 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eby'engeri eyo bigenda ne birabika ng'omuli amagezi mu nsoma ey'okwekakamula, okwefeebya n'okukangavvula omubiri, naye tebirina kye bigasa ku kukoma ku masanyu g'omubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri ey'okusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono mu kufuga okwegomba kw'omubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri y'okusinza Katonda, abantu gye beegunjirawo bokka, ne mu kwewombeeka okw'obulimba, era ne mu kubonereza omubiri. Naye tebiriiko kye bigasa mu kufuga okwegomba kw'omubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo birina ddala ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono olw'okwegomba kw'omubiri.